Joshua 10:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eggye lyonna ne lidda eri Yoswa mu lusiisira e Makkeda, nga balamu, tebaliiko kabi; tewali yagezaako nate kugamba kantu ku Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olwo abantu bonna ne bakomawo mirembe eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali. Teri muntu yaddayo kwogerera Bayisirayiri mafuukuule.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ne balyoka bakomawo mu lusiisira eri Yoswa e Makkeda n'emirembe; tewaali muntu n'omu mu nsi eyo eyaguma okwogera obubi ku baana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo Abayisirayeli bonna ne bakomawo mirembe mu lusiisira eri Yoswa mu Makkeda. Tewali muntu n'omu mu nsi eyo eyaguma wadde okwogera obubi ku Bayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abantu bonna ne balyoka bakomawo mu lusiisira eri Yoswa mu Makkeda n'emirembe: tewaali muntu eyagezaako okwogera okuvuma n'omu ku baana ba Isiraeri.