Joshua 10:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'alagira nti: “Muzibukule omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka abataano mubandeetere.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma Yoswa n’abagamba nti, “Mugguleewo omumwa gw’empuku mundeetere bakabaka abo abataano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa n'alyoka agamba nti, “ Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano (5).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'agamba nti: “Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano, mubandeetere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'alyoka ayogera nti Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano mu mpuku.