Joshua 10:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuusa bakabaka awali Yoswa, n'atumya abasajja Abayisirayeli bonna, n'agamba abagabe b'abatabaazi abaali naye nti: “Mujje wano, musse ebigere byammwe ku nsingo za bakabaka bano.” Ne basembera, ne bassa ebigere byabwe ku nsingo zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baabamuleetera, Yoswa n’akoowoola Abayisirayiri bonna, n’alagira abaduumizi b’eggye abaali naye nti, “Musembere wano kumpi, mulinnye ku nsingo za bakabaka bano.” Nabo ne basembera kumpi ne bakola nga bw’abalagidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, bwe baggyamu bakabaka bali ne babaleetera Yoswa, Yoswa n'ayita abasajja bonna aba Isiraeri, n'agamba abakulembeze ab'abalwanyi abaagenda naye nti, “Mujje, musse ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano.” Ne bajja, ne bassa ebigere byabwe mu bulago bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babaleeta eri Yoswa. Yoswa n'ayita abasajja Abayisirayeli bonna, n'agamba abakulembeze b'abalwanyi abaagenda naye nti: “Mujje mulinnye ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano.” Ne bajja, ne balinnya ebigere byabwe mu bulago bwa bakabaka abo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, bwe baggyamu bakabaka bali ne babaleetera Yoswa, Yoswa n'ayita abasajja bonna aba Isiraeri, n'agamba abaami ab'abalwanyi abaagenda naye nti Mujje, musse ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano. Ne bajja, ne bassa ebigere byabwe mu bulago bwabwe.