Joshua 10:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Temutya, temutekemuka, mugume, munywere, kubanga eno ye ngeri Omukama gy'anaayisangamu abalabe bammwe be mulwanyisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’abagamba nti, “Temutya wadde okuterebuka, mube n’amaanyi era n’obuvumu kubanga eno y’engeri Mukama gy’anaakola abalabe bammwe be mulwana nabo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'abagamba nti, “Temutya, so temukankana; muddemu amaanyi, mugume omwoyo; kubanga Mukama bw'alibakola bw'atyo abalabe bammwe bonna be mulirwana nabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'agamba abakulembeze nti: “Temutya, era temuggwaamu maanyi, era mugume omwoyo, kubanga kino Mukama ky'agenda okukola ku balabe bammwe bonna be munaalwanyisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'abagamba nti Temutya, so temukankana, muddeemu amaanyi, mugume emyoyo: kubanga Mukama bw'alibakola bw'atyo abalabe bammwe bonna be mulirwana nabo.