Joshua 10:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjuba bwe yali egwa Yoswa n'alagira babawanule ku miti; ne babawanula ne babasuula mu mpuku mwe baali beekwese, ne bassaako agayinja aganene; gakyaliko n'okutuusa ku lunaku luno lwennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjuba bwe yamala okugwa Yoswa n’alagira emirambo ne giwanulwa ku miti ne gisuulibwa mu mpuku bakabaka bano mwe basooka okwekukuma, ne bayiringisa agayinja aganene ne bagasaanikira ku mumwa gw’empuku n’okutuusa kaakano amayinja ago gakyaliko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne baggya emirambo gyabwe ku miti, ne bagisuula mu mpuku mwe baali beekwese olubereberye, ne bateeka amayinja amanene ku mulyango gw'empuku, agakyaliwo ne kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne baggyayo emirambo gyabwe, ne gisuulibwa mu mpuku mwe baali beekwese okusooka, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, agakyaliwo n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne babaggya ku miti, ne babasuula mu mpuku mwe baali beekwese, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, ne kaakano.