Joshua 10:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Yoswa n'awamba Makkeda. Kabaka waakyo na bonna abaalimu n'abatta n'ekitala; n'atta buli kiramu kyonna ekyalimu. Teyaleka na kimu kyasigalawo. Kabaka wa Makkeda n'amukola nga bwe yakola kabaka wa Yeriko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo Yoswa n’alumba Makkeda n’akizikiriza ne kabaka waayo n’amuttisa obwogi bw’ekitala, abaayo bonna n’abazikiriza, kye yakola kabaka w’e Yeriko era kye yakola n’ow’e Makkeda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'amenya Makkeda ku lunaku olwo, n'akizikiriza ne kabaka waamu n'amutta n'obwogi bw'ekitala; n'azikiririza ddala abantu bonna abaakirimu, n'atalekawo n'omu, n'akola kabaka w'e Makkeda nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, Yoswa n'alumba era n'awamba Makkeda ne kabaka waamu. N'atta buli muntu eyakirimu, obutalekaawo n'omu. N'akola ku kabaka w'e Makkeda nga bwe yakola ku kabaka w'e Yeriko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'amenya Makkeda ku lunaku olwo; n'akikuba n'obwogi bw'ekitala, ne kabaka waamu; n'abazikiririza ddala bo n'emyoyo gyonna egyalimu, n'atasigazaako n'omu: n'akola kabaka w’e Makkeda nga bwe yakola kabaka w’e Yeriko.