Joshua 10:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa, n'ava mu Makkeda wamu ne Yisirayeli yenna, n'alaga e Libuna, n'akirwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bava e Makkeda, ne bagenda e Libuna ne bakizinda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa n'ava e Makkeda n'Abaisiraeri bonna, n'alumba Libuna okulwana nakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'ava mu Makkeda ng'ali n'eggye lye lyonna, n'agenda e Labuna n'akirumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'ava mu Makkeda; n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Libuna, ne balwana n'ab'e Libuna.