Joshua 10:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Adoni-Zedeki kabaka wa Yeruzaalemu kwe kutumira Owamu kabaka wa Keburoni, Piramu kabaka wa Yarumuti, Yafiya kabaka wa Lakisi ne Debiri kabaka wa Eguloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi n’atumira bakabaka bano: Kokamu ow’e Kebbulooni, ne Piramu ow’e Yalamusi, ne Yafiya ow’e Lakisi ne Debiri ow’e Eguloni n’abagamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Adonizedeki, kabaka w'e Yerusaalemi, kyeyava atumira Kokamu, kabaka w'e Kebbulooni, Piramu, kabaka w'e Yalamusi, Yafiya, kabaka w'e Lakisi, ne Debiri, kabaka w'e Eguloni, ng'ayogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Adonizedeki n'atumira Kabaka Hohamu ow'e Heburooni ne Kabaka Piramu ow'e Yarumuti, ne Kabaka Yafiya ow'e Lakisi, ne Kabaka Debiri ow'e Egulooni nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Adonizedeki, kabaka w'e Yerusaalemi, kyeyava atuma eri Kokamu, kabaka w'e Kebbulooni, n'eri Piramu, kabaka w'e Yalamusi; n’eri, Yafiya, kabaka w'e Lakisi, n'eri Debiri, kabaka w'e Eguloni, ng'ayogera nti