Joshua 10:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakyo Omukama n'akiwaayo mu mikono gya Yisirayeli wamu ne kabaka waakyo; Yisirayeli n'atta buli kiramu kyonna ekyalimu; mu kyo teyalekamu na kimu kyasigalawo. Kabaka wa Libuna n'amukola nga bwe yakola kabaka wa Yeriko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nakyo Mukama n’akibawanguza, n’atta abaakirimu bonna n’obwogi bw’ekitala, tewali n’omu gwe yalekawo. Kye yakola kabaka we Yeriko era kye yakola n’ow’e Libuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama nakyo n'akiwaayo, ne bakiwangula ne kabaka waamu; ne batta bonna abaakirimu obutasigalamu muntu n'omu. Yoswa n'akola kabaka waamu nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'awa Abayisirayeli nakyo okukiwangula ne kabaka waamu. Ne batta abaakirimu bonna, obutataliza n'omu. Ne bakola ku kabaka waamu nga bwe baakola ku kabaka w'e Yeriko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama nakyo n'akiwaayo, ne kabaka waamu, mu mukono gwa Isiraeri; n'akikuba n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu n'atasigazaamu n'omu; n'akola kabaka waamu nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko.