Joshua 10:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'awa Lakisi mu mikono gya Yisirayeli, ne Yisirayeli n'akiwamba ku lunaku olwaddirira, n'atta buli kiramu kyonna ekyalimu n'ekitala, nga bwe yali akoze e Libuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwokubiri Mukama n’akibawanguza, ne bazikiriza n’ekitala buli muntu yenna eyakirimu era nga bwe baakola e Libuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama n'awaayo, Lakisi mu mukono gwa Isiraeri, Yoswa n'akiwangula ku lunaku olwokubiri; n'atta abantu bonna abaakirimu n'ekitala, nga bwe yakola Libuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'awa Abayisirayeli okuwangula Lakisi ku lunaku olwokubiri. Nga bwe baakola e Libuna, ne batta abantu bonna abaakirimu, nga tebataliza n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'akiwaayo Lakisi mu mukono gwa Isiraeri; n'akimenya ku lunaku olwokubiri, n'akitta n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu, nga byonna bye yakola Libuna.