Joshua 10:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kaseera ke kamu Oramu kabaka wa Gezeri yali azze okuyamba Lakisi; naye Yoswa n'amukuba n'abantu be bonna okutuusa nga tewasigaddewo n'omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kolamu kabaka w’e Gezeri n’agezaako okudduukirira Lakisi oyo naye Yoswa n’amutta era n’atalekaawo yadde n’omu ku bantu be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kolamu kabaka w'e Gezeri, n'ajja okuyamba Lakisi; Yoswa n'amukuba n'abantu be bonna obutalekaawo n'omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Horamu ow'e Gezeri n'ajja okuyamba Lakisi. Kyokka Yoswa n'amuwangula ye n'abantu be, n'atalekaawo n'omu nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kolamu kabaka w'e Gezeri n'alyoka alinnya okuyamba Lakisi; Yoswa n'amukuba ye n'abantu be, n'atasigazaako n'omu.