Joshua 10:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakiwangula ku lunaku olwo lwennyini; bonna abaali mu kibuga n'abatta n'ekitala, nga bwe yali akoze Lakisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo lwennyini ne bazikiriza n’obwogi bw’ekitala buli eyakirimu nga bwe baakola Lakisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bakimenya ku lunaku olwo, ne batta abantu bonna abaakirimu ku lunaku olwo obutalekaawo n'omu nga bwe baakola Lakisi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakiwamba ku lunaku olwo lwe lumu, ne batta abantu bonna abaakirimu, nga tebataliza n'omu, mu ngeri ye emu nga bwe baakola e Lakisi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bakimenya ku lunaku olwo, ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu n'agizikiririza ddala ku lunaku olwo; nga byonna bye yakola Lakisi.