Joshua 10:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga n'akiwamba; n'akuba n'ekitala ekibuga, kabaka waakyo, ebyalo byakyo byonna na buli muntu; teyalekawo n'omu yawonawo. Nga bwe yakola Eguloni, bwe yakola ne Keburoni; kyonna baakizikiriza na buli ekyalimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bakikuba; ne bazikiriza n’ekitala abantu baayo bonna era ne kabaka waabwe n’obubuga bwamu bwonna nga bwe baakola mu Eguloni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakimenya ne batta kabaka waamu n'abantu bonna abaali mu bibuga byakyo byonna, ne batalekaawo muntu yenna nga bwe baakola Eguloni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakiwamba, ne batta kabaka waamu n'abantu bonna abaakirimu, n'abaali mu bubuga bwakyo bwonna, nga tebataliza muntu n'omu, mu ngeri ye emu nga bwe baakola mu Egulooni. Yoswa n'akizikiririza ddala, n'atalekaamu muntu n'omu nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bakimenya ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, ne kabaka waamu, n'ebibuga byakyo byonna, n'emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu, nga byonna bye yakola Eguloni; naye n'akizikiririza ddala, n'emyoyo gyonna egyalimu.