Joshua 10:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga baakiwamba, ne kabaka waakyo n'ebyalo byakyo byonna ne babikuba n'ekitala; ne batta buli kiramu kyonna ekyalimu; teyalekamu n'omu yawonawo. Nga bwe yakola Keburoni ne Libuna ne bakabaka baabyo, era bwe yakola ne Debiri ne kabaka waakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakiwamba ne bazikiriza n’ekitala kabaka waakyo n’abantu baakyo bonna n’obubuga bwakyo bwonna, era nga bwe baakola e Kebbulooni ne Libuna bwe baakola ne Debiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'akimenya, n'atta abantu bonna abaali mu bibuga byakyo obutalekaawo n'omu. Yoswa n'akola Debiri ne kabaka waamu, nga bwe yakola Kebbulooni ne Libuna ne bakabaka baamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akiwamba ne kabaka waamu, n'obubuga bwakyo bwonna. Ne batta abaayo bonna, obutalekaawo n'omu. Yoswa n'akola ku Debiri ne kabaka wamu nga bwe yakola ku Heburooni ne Libuna ne bakabaka baamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'akimenya ne kabaka waamu, n'ebibuga byakyo byonna; ne babitta n'obwogi bw'ekitala, ne bazikiririza ddala emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu: nga bwe yakola Kebbulooni, bwe yakola bw'atyo Debiri, ne kabaka waamu; era nga bwe yakola Libuna, ne kabaka waamu.