Joshua 10:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Mwambuke eno gye ndi, munnyambe tulwanyise Gibewoni, kubanga yakola endagaano ey'emirembe ne Yoswa n'Abayisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mujje munziruukirire tuzikirize ekibuga Gibyoni kubanga abantu baamu bakoze endagaano y’emirembe ne Yoswa n’Abayisirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mujje munnyambe tukube Gibyoni; kubanga abaayo baalagaana endagaano ey'emirembe ne Yoswa n'abaana ba Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mujje munnyambe okulumba Gibiyoni, kubanga abantu baakyo bakoze endagaano ey'okutabagana ne Yoswa n'Abayisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulinnye gye ndi mumbeere, tukube Gibyoni: kubanga baalagaana emirembe ne Yoswa n'abaana ba Isiraeri.