Joshua 10:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Yoswa n'awangula ensi yonna: ekitundu eky'ensozi, Negevu, Sefela n'ensi ensozi gye ziserengeta, ne bakabaka baamu. Teyalekamu n'omu yawonawo, wabula buli ekissa kyonna yakizikiriza, ng'Omukama Katonda wa Yisirayeli bwe yali alagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi eyo yonna ey’agasozi, n’ebiwonvu, n’ensenyi ne bakabaka baayo bonna, tewali kiramu na kimu kye yaleka nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Yoswa n'awangula ensi zonna ezo, ensi ey'ensozi, ey'obukiikaddyo, ey'ensenyi, ey'ebiwonvu; ne bakabaka baamu bonna, n'atta abantu bonna abaazirimu, obutalekaawo n'omu, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'awangula ensi eyo yonna, ekitundu eky'ensozi, n'ekitundu eky'omu bukiikaddyo, n'eky'ensenyi, n'eky'ebiwonvu, ne bakabaka baamu bonna. N'atta abaayo bonna, nga Mukama, Katonda wa Yisirayeli bwe yalagira, n'atatalizaawo n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Yoswa bwe yakuba ensi yonna, ensi ey'ensozi; n'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ensenyi, n'ebiwonvu, ne bakabaka baamu bonna; n'atasigazaako n'omu: naye n'azikiririza ddala bonna abassa omukka, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yalagira.