Joshua 10:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa yawamba Bakabaka bano bonna n'ensi zaabwe mu lutalo lumu, kubanga Omukama Katonda wa Yisirayeli ye yali alwanirira Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’awamba bakabaka bano bonna n’ensi zaabwe mu lulumba lumu lwokka kubanga Mukama Katonda wa Isirayiri yalwanirira Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakabaka abo bonna n'ensi zaabwe, Yoswa n'abawangula omulundi gumu, kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, yalwanirira Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakabaka abo bonna n'ensi yaabwe Yoswa n'abawangula omulundi gumu, kubanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli yalwanirira Yisirayeli
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakabaka abo bonna n'ensi yaabwe Yoswa n'abamenya mulundi gumu; kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, yalwanirira Isiraeri.