Joshua 10:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'ayambuka ng'ava e Gilugali, ye n'abasajja be bonna abalwanyi n'abatabaazi be bonna abazira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Yoswa n’ava e Girugaali n’abasajja be abalwanyi ba nnamige.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa n'ava e Girugaali n'ajja ng'ali n'abalwanyi be bonna, abazira abamaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'ava e Gilugaali n'eggye lye lyonna, omuli n'abalwanyi bonna ab'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yoswa n'ava mu Girugaali n'alinnya, ye n'abalwanyi bonna awamu naye, n'abazira bonna ab'amaanyi.