Joshua 10:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya, kubanga mbakuwadde mu mikono gyo; tewali n'omu ku bo anaasobola kukugumira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga bonna mbagabudde mu mukono gwo, teri n’omu ku bo anaalama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Tobatya; kubanga mbakuwadde mu mikono gyo, tewaabe muntu mu bo anaayimirira mu maaso go.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya, kubanga mmaze okubateeka mu mikono gyo. Tewaabe n'omu mu bo anaasobola kukwesimbako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Yoswa nti Tobatya, kubanga mbakuwadde mu mikono gyo: tewaabe muntu mu bo anaayimirira mumaaso go.