Joshua 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'ava e Gilugali; oluvannyuma lw'okumala ekiro kyonna ng'atambula, n'abazinduukiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’abasajja be ne bakeesa obudde nga batambula okuva e Girugaali ne balyoka bagwa ku b’Amoli ekiyiifuyiifu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yoswa najja mangu gyebali, ng'atambudde ekiro kyonna okuva e Girugaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiro kyonna Yoswa n'atambula n'eggye lye, okuva e Gilugaali, n'azinduukiriza Abaamori nga tebamanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yoswa n'abajjirira mangu nga tebamanyi; kubanga yava Girugaali n'alinnya ekiro n'akeesa obudde.