Joshua 11:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabini, kabaka wa Kazori bwe yawulira ebyo, n'atumira Yobabu kabaka wa Madoni, ne kabaka wa Simuroni, ne kabaka wa Akusafu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yabini kabaka w’e Kazoli bwe yakimanya, n’atumya Yobabu kabaka w’e Madoni n’eri kabaka w’e Simuloni n’eri kabaka w’e Akusafu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, Yabini kabaka w'e Kazoli bwe yawulira obuwanguzi bwa Isiraeri, n'atumira Yobabu kabaka w'e Madoni, ne kabaka w'e Simuloni, ne kabaka w'e Akusafu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yabini kabaka wa Hazori bwe yawulira ebyo, n'atumira Yobabu kabaka wa Madoni, kabaka wa Simurooni n'owa Akusafu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, Yabini kabaka w'e Kazoli bwe yakiwulira; n'atumira Yobabu kabaka w’e Madoni, ne kabaka w’e Simuloni, ne kabaka w’e Akusafu