Joshua 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Yoswa n'awamba Kazori, ne kabaka waakyo n'amutta n'ekitala; Kazori kye kyali ekibuga ekikulu eky'eŋŋoma zino zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Yoswa n’addako emabega n’awamba Kazoli, kabaka waakyo n’amutta n’ekitala kubanga emabegako Kazoli kye kyali ekitebe ky’obwakabaka obwo bwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo, Yoswa n'adda emabega n'akuba Kazoli, ne kabaka waamu n'amutta n'ekitala. Edda Kazoli kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa n'adda emabega mu kiseera ekyo, n'awamba Azoni n'atta kabaka waamu. Mu biseera ebyo Hazori kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'adda ennyuma mu biro ebyo, n'amenya Kazoli, ne kabaka waamu n'amutta n'ekitala; kubanga Kazoli edda liri kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna.