Joshua 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'awamba ebibuga byonna ebya bakabaka ebyetooloddewo ne bakabaka baabyo n'abawangula, n'abisaanyaawo nga Musa omuweereza w'Omukama bwe yali alagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’awamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baabyo, n’abatta n’ebitala n’abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'awamba ebibuga ne bakabaka baamu bonna, n'atta buli muntu obutalekaawo n'omu, nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'awamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baamu, n'atta buli muntu nga Musa, omuweereza wa Mukama bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebibuga byonna ebya bakabaka bali, ne bakabaka baamu bonna, Yoswa n'abamenya n'abatta n'obwogi bw'ekitala, n'abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira.