Joshua 11:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yisirayeli teyayokya bibuga byali ku ntuumu; kimu kyokka, Kazori, Yoswa kye yazikiriza n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuggyako Kazoli, ebibuga ebirala byonna ebyali bizimbiddwa ku bifunvu, Yoswa teyabyokya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebibuga ebyazimbimbwa ku bifunvu, Abaisiraeri tebaayokyako n'ekimu, okuggyako Kazoli kyokka, Yoswa kye yayokya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebibuga ebyazimbibwa ku bifunvu, oba ku busozi, tebaayokyako na kimu, okuggyako Hazori kyokka. Ekyo Yoswa kye yayokya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebibuga ebyayimirira ku bifunvu byabyo, Abaisiraeri ne batayokyako n'ekimu, wabula Kazoli kyokka; ekyo Yoswa n'akyokya.