Joshua 11:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bye baanyaga mu bibuga bino n'ebisolo by'awaka Abayisirayeli baabyetwalira, naye bo abantu baabatta bonna, obutatalizaawo n'omu; buli alimu akassa baamutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne beetwalira omunyago gwonna ogw’ebibuga bino n’ente, era ne batta buli muntu yenna ne babazikiriza awatali kusigala n’omu assa omukka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne beetwalira omunyago gw'ebibuga ebyo awamu n'ente, naye ne batta buli muntu yenna obutalekaawo n'omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne beetwalira omunyago gw'ebyobugagga byonna n'amagana, bye baggya mu bibuga ebyo. Naye ne batta buli muntu obutalekerawo ddala n'omu nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omunyago gwonna ogw'ebibuga ebyo n'ente, abaana ba Isiraeri ne babyetwalira okuba ebinyage byabwe; naye buli muntu ne bamutta n'obwogi bw'ekitala, ne babazikiriza; ne batasigazaako muntu assa mukka.