Joshua 11:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kye yali alagidde omuweereza we Musa, ne Musa kye yalagira Yoswa, Yoswa kye yakola; teyalekayo wadde akagambo kati ku ebyo Omukama bye yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga Mukama bwe yalagira omuddu we Musa, bw’atyo Musa bwe yalagira Yoswa era ne Yoswa bwe yakola; talina kye yaleka takoze ku byonna Mukama bye yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga Mukama bwe yalagira Musa omuweereza we, bw'atyo ne Musa bwe yalagira Yoswa; ne Yoswa bw'atyo bwe yakola n'ataleka kintu kyonna obutakikola mu byonna Mukama bye yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye yawa bw'atyo omuweereza we Musa ebiragiro, Musa n'abiwa Yoswa, ne Yoswa n'abituukiriza. Teyalekayo kintu na kimu Mukama kye yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga Mukama bwe yalagira Musa omuweereza we, Musa bwe yalagira bw'atyo Yoswa: ne Yoswa bwe yakola bw'atyo; teyaleka kintu obutakikola mu byonna Mukama bye yalagira Musa.