Joshua 11:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi yonna: ensi ey'ensozi, ne Negevu yenna, n'ensi yonna eya Goseni, Sefela, Araba, ensozi za Yisirayeli n'emiseetwe ensozi gye zisembera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Yoswa n’awangula ensi yonna, n’ensi ey’ensozi n’ey’obugwanjuba yonna, n’ekitundu kya Goseni kyonna, ensi ey’ensenyi ne Alaba, n’ensi yaayo yonna ey’ensenyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Yoswa bwe yawamba ensi eyo yonna, ensi ey'ensozi, n'ey'obukiikakkono n'ey'obukiikaddyo, n'ekitundu kyonna ekya Goseni, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, n'ensi ey'ensozi eya Isiraeri n'ekiwonvu kyayo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi eyo yonna ey'ensozi n'ey'ensenyi mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, n'ekitundu kyonna eky'e Goseni, n'ensi enkalu ey'ebugwanjuba bwakyo, era n'Ekiwonvu kya Yorudaani,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Yoswa bwe yatwala ensi eyo yonna ensi ey'ensozi, n'ey'obukiika obwa ddyo yonna, n'ensi yonna eya Goseni, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, n'ensi ey'ensozi eya Isiraeri n'ensi ey'ensenyi yaayo;