Joshua 11:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ku lusozi Kalaki, olugenda lugulumira okweyunga ku Seyiri, okutuuka ku Baali-Gaadi mu Kiwonvu kya Lebanoni wansi w'Olusozi Kerumoni. Bakabaka baabwe bonna yabakwata, n'abakuba n'abatta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku lusozi Kalaki, okulinnya okutuuka e Seyiri, n’okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w’olusozi Kerumooni ne bakabaka baayo bonna n’abawamba, n’abafumita, n’abatta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'okuva ku lusozi Kalaki, okwambuka e Seyiri, n'okutuuka e Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w'olusozi Kerumooni. Bakabaka baayo bonna n'abawamba, n'abafumita n'abatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'okuva ku Lusozi Halaki okwambuka e Seyiri, okutuuka e Baalugaadi mu Kiwonvu kya Lebanooni, wansi w'Olusozi Herumooni. Bakabaka baayo bonna n'abawamba n'abatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuva ku lusozi Kalaki, olulinnya e Seyiri, okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w'olusozi Kerumooni: ne bakabaka baayo bonna n'abawamba, n'abafumita, n’abatta.