Joshua 11:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali kibuga kyakola ndagaano na Bayisirayeli okuggyako Abakivi abaabeeranga mu Gibewoni; abalala bonna Yisirayeli yabakwata mu ntalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali kibuga kyakola ndagaano ya mirembe n’abaana ba Isirayiri okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni; byonna baabilwanyisa ne babiwangula,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali kibuga ekyalagaana emirembe n'abaana ba Isiraeri, okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni. Ebibuga ebirala byonna babiwambira mu kulwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali kibuga kyakola ndagaano ya kutabagana na Bayisirayeli okuggyako Gibiyoni, ekyalimu abamu ku Bahiivi. Ebirala byonna byawambibwa mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali kibuga ekyalagaana emirembe n'abaana ba Isiraeri, wabula Abakiivi abaali mu Gibyoni: baabimenya byonna mu kulwana.