Joshua 11:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama ye yagugubya emitima gyabwe balwanyise Yisirayeli, balyoke bazikirizibwe ddala, baleme kusaasirwa n'akatono, basaanyizibwewo, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga Katonda yennyini ye yakakanyaza emitima gyabwe balwane ne Isirayiri, alyoke abazikiririze ddala, abamalirewo ddala awatali kubakwatirwa kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama yabakakanyaza emitima gyabwe, okujja okulwana ne Isiraeri, alyoke abazikiririze ddala, awatali kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye yakakanyaza emitima gy'abantu baamu okujja okulwanyisa Abayisirayeli, balyoke battibwe awatali kisa, era bazikiririzibwe ddala, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyava eri Mukama okukakanyaza emitima gyabwe, okujja okulwana ne Isiraeri, alyoke abazikiririze ddala, baleme okulaba ekisa, naye abazikirize, nga Mukama bwe yalagira Musa.