Joshua 11:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'awamba ensi yonna ng'Omukama bwe yali agambye Musa, n'agiwa Yisirayeli ng'obusika bwabwe ng'agoberera ebika byabwe n'ebitundu byabwe. Awo ensi n'eweerako ku ntalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa bw’atyo bwe yatwala ensi yonna nga Mukama bwe yalagira Musa, n’agiwa abaana ba Isirayiri okuba omugabo nga bwe yayawulibwa mu bika byabwe. Olwo ensi n’ewummula entalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi eyo yonna, nga Mukama bwe yagamba Musa. Yoswa n'awa Abaisiraeri ensi eyo okuba obusika bwabwe, nga buli kika akiwa ekitundu ekyakyo. Awo ensi n'ewummula okulwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Yoswa n'awamba ensi eyo yonna, nga Mukama bwe yagamba Musa. Yoswa n'awa Abayisirayeli ensi eyo ebe yaabwe, nga buli kika akiwa ekitundu ekyakyo. Awo ensi n'ewummula entalo, n'eba mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa bw'atyo bwe yalya ensi yonna; nga byonna Mukama bye yagamba Musa: Yoswa n'agiwa Isiraeri okuba obusika nga bwe baayawulibwa mu bika byabwe. N'ensi n'ewummula okulwana.