Joshua 11:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne basitula bonna, amagye gaabwe gonna n'embalaasi wamu n'ebigaali bingi nnyo, ng'abatabaazi bangi, butabalika ng'omusenyu ogw'oku lubalama lw'ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bajja, n’amaggye gaabwe gonna, nga bangi nnyo nga bali ng’omusenyu gw’ennyanja, era ne bajja n’embalaasi nnyingi nnyo n’amagaali mangi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bajja, buli omu n'eggye lye, ne baba bangi ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, n'embalaasi n'amagaali bingi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bajja n'amagye gaabwe gonna, ng'obungi bali ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Era baalina embalaasi nnyingi nnyo n'amagaali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bajja, bo n'eggye lyabwe lyonna awamu nabo; abantu bangi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja bwe guli omungi, n'embalaasi n'amagaali bingi nnyo.