Joshua 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana ne basiisira wamu ku mazzi g'e Meromu, balwanyise Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabaka bano bonna ne beegatta ne bakuba olusiisira olwa awamu ku nzizi ez’e Meromu, balwanyise Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana; ne bajja ne basiisira wamu ku mazzi ag'e Meromu, okulwana ne Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana, ne bajja basiisira ku mazzi g'e Meromu okulwanyisa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana; ne bajja ne basimba olusiisira awamu ku mazzi ag'e Meromu, okulwana ne Isiraeri.