Joshua 11:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya, kubanga enkya mu budde nga buno, abo bonna nzija kubassa mu maaso ga Yisirayeli nga bamaze okuttibwa; embalaasi zaabwe ojja kuzisala enteega, n'ebigaali obyokye omuliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga obudde nga bwe buti enkya nzija kubawaayo bonna eri Isirayiri, bafumitibwe, battibwe, embalaasi muziteme enteega n’amagaali gookebwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Yoswa nti, “Tobatya abo, kubanga enkya nga kaakano nnaaba mmaze okubawaayo eri Isiraeri nga bafu. Embalaasi zaabwe onoozitema enteega, n'amagaali gaabwe onoogokya omuliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Yoswa nti: “Tobatya abo, kubanga enkya mu kiseera nga kino, nja kuba nga mmaze okubagabula eri Yisirayeli, nga bafu. Embalaasi zaabwe ojja kuzitema enteega, amagaali gaabwe ogookye omuliro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Yoswa nti Totya olw'abo: kubanga jjo nga kaakano ndibawaayo bonna nga battiddwa mu maaso ga Isiraeri: embalaasi zaabwe olizitema enteega, n'amagaali gaabwe oligookya omuliro.