Joshua 11:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'abawaayo mu mikono gya Yisirayeli. Baabakuba, ne babawondera okubatuusa e Sidoni Omunene n'e Misurefoti-Mayimu ne mu Kiwonvu ky'e Mizupa ebugwanjuba; yabakubira ddala okutuusa nga tewali n'omu asigaddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’abawaayo mu mukono gwa Isirayiri ne babawangula ne babagobera ddala, okubatuusa mu Sidoni ekinene ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu kye Mizupa ebuvanjuba, ne babazikiririza ddala obutalekaawo n’omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'abawaayo mu mukono gwa Isiraeri, ne babakuba, ne babawondera okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu eky'e Mizupe mu buvanjuba. Ne babatta obutalekaawo n'omu nga mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'awa Abayisirayeli okubawangula, Abayisirayeli ne babakuba, ne babawondera okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefooti-Mayiimu, ne ku Kiwonvu ky'e Mizupa mu buvanjuba. Ne babatta obutalekaawo n'omu nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'abawaayo mu mukono gwa Isiraeri, ne babakuba, ne babagoba okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu Mizupe ku buvanjuba; ne babakuba obutasigazaako n'omu.