Joshua 11:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa yakola ng'Omukama bwe yali amulagidde: embalaasi zaabwe n'azisala enteega, n'ebigaali n'abyokya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’abakolako nga Mukama bwe yamulagira, embalaasi zaabwe nazitema enteega, n’amagaali gaabwe n’agookya omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'abakola nga Mukama bwe yamulagira; n'atema embalaasi zaabwe enteega, n'amagaali gaabwe n'agokya omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'abakolako Mukama kye yamulagira: embalaasi zaabwe n'azitema enteega, amagaali gaabwe n'agookya omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'abakola nga Mukama bwe yamulagidde: n'azitema enteega embalaasi zaabwe, n'ayokya omuliro amagaali gaabwe.