Joshua 12:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be bakabaka Abayisirayeli be baawangula n'ensi zaabwe ne bazitwala, ebuvanjuba wa Yorudani, okuva ku kiwonvu kya Arunoni okutuuka ku lusozi Kerumoni, n'ekitundu kyonna ebuvanjuba wa Araba:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bano be bakabaka ab'ensi, abaana ba Isiraeri be bawangula ne batwala ensi yaabwe eri emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw'ebuvanjuba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be bakabaka b'ensi, Abayisirayeli be baawangula ne beefuga ensi yaabwe emitala wa Yorudaani ku ludda olw'ebuvanjuba ne beefuga ensi yaabwe okuva ku Kiwonvu ekya Arunoni okwambuka n'Ekiwonvu ekya Yorudaani, okutuuka ku Lusozi Herumooni mu bukiikakkono: baawangula
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bano be bakabaka ab'ensi abaana ba Isiraeri be baakuba, ne balya ensi yaabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni; ne Alaba yonna ku luuyi olw'ebuvanjuba.