Joshua 12:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sikoni, kabaka w'Abaamori eyabeeranga e Kesuboni, yafuganga okuva ku Aroweri, ekiri ku lubalama lw'omugga Arunoni, n'amakkati g'Ekiwonvu Arunoni, n'ekyokubiri kya Gileyaadi okukoma ku mugga Yabboki, Abammoni kwe bakoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sikoni kabaka w’Abamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yaboki, y’ensalo y’abaana ba Amoni; kino ng’ogasseeko n’ekitundu Gireyaadi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sikoni kabaka w'Abamoli, eyabeeranga e Kesuboni ng'afuga okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'ekitundu kya Gireyaadi, okutuukira ddala ku mugga Yabboki, oguli ku nsalo ey'abaana ba Amoni;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga mu Hesubooni. Obwakabaka bwe bwazingirangamu ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi, okuva ku Aroweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu kiwonvu wakati, okutuuka ku Mugga Yabboki, ensalo y'Abammoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sikoni kabaka w'Abamoli, eyabeera mu Kesuboni, era eyafuga okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'ekitundu kya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yabboki, ye nsalo ey'abaana ba Amoni