Joshua 12:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mu Araba ebuvanjuba, okutuuka ku nnyanja y'e Kinnereti, ebugwanjuba, okutuuka ku nnyanja eya Araba, ye Nnyanja ey'Omunnyo, ebuvanjuba, okutuuka e Beti-Yesimoti, emaserengeta wansi w'enkonko za Pisuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era yafuga ne Alaba okutuukira ddala ku nnyanja ey'e Kinnerosi, ku luuyi olw'ebuvanjuba, naatuukira ddala ne ku nnyanja ya Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo ku luuyi olw'ebuvanjuba, ku kkubo eridda e Besuyesimosi; ne ku luuyi olw'obukiikaddyo, wansi w'olusozi Pisuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwatwalirangamu Ekiwonvu ekya Yorudaani, okuva ku Nnyanja y'e Galilaaya, mu bukiikaddyo, okutuuka e Betiyesimooti ebuvanjuba bw'Ennyanja y'Omunnyo n'okweyongerayo, okutuuka wansi w'Olusozi Pisuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw'ebuvanjuba, ne ku nnyanja ya Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kkubo ery'e Besuyesimosi; ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, wansi wa Pisuga: