Joshua 12:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olusozi lwonna olwa Kerumoni, Saleka, ensi yonna eya Basani okutuuka ku nsalo n'Abagessuri ne Abamaakati, n'ekyokubiri kya Gileyaadi, okutuuka ku nsalo ne Sikoni, kabaka wa Kesuboni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era eyafugiranga ne ku lusozi Kerumooni, ne mu Saleka, ne mu Basani yonna, okutuukira ddala ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi, n'ekitundu kya Gireyaadi okutuukira ddala ku nsalo ya Sikoni kabaka w'e Kesuboni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwakabaka bwe bwazingirangamu Olusozi Herumooni, ne Saleka, ne Basani yonna, okutuuka ku nsalo ya Gesuri ne Maaka, awamu n'ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi, okutuuka ku nsalo y'obwakabaka bwa Sihoni ow'e Hesubooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era eyafugira ku lusozi Kerumooni, ne mu Saleka, ne mu Basani yonna, okutuuka ku nsalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'ekitundu kya Gireyaadi; ensalo ya Sikoni kabaka w'e Kesuboni.