Joshua 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano Musa omuweereza w'Omukama n'Abayisirayeli baabawangula, ensi yaabwe Musa n'agiwa ab'ekika kya Rubeni ne Gaadi, n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse ebeere yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa omuweereza wa Mukama n'Abaisiraeri baawangula bakabaka abo, ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu ekimu eky'okubiri eky'Ekika kya Manase ebe yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'Abayisirayeli baawangula bakabaka abo, ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa Abarewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, ebe yaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa omuweereza wa Mukama n'abaana ba Isiraeri baabakuba; ne Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa okugirya eri Abalewubeeni, n'Abagaasi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase.