Joshua 12:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be bakabaka b'ensi Yoswa n'Abayisirayeli ze baawangula ebugwanjuba wa Yorudani, okuva ku Baali-Gaadi mu Kiwonvu kya Lebanoni okutuuka ku lusozi Kalaki olugenda lugulumira okweyunga ku Seyiri. Ensi zaabwe Yoswa yazigabira ebika bya Yisirayeli mu bitundu byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be bakabaka b’ensi, Yoswa n’abaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lw’ebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bano be bakabaka ab'ensi Yoswa n'abaana ba Isiraeri be bawangula ebugwanjuba bwa Yoludaani okuva e Baalugadi ekiri mu kiwonvu kya Lebanooni okutuukira ddala ku lusozi Kalaki, n'okwambuka okutuuka e Seyiri; Yoswa n'agiwa abaana ba Isiraeri ebe eyabwe, buli kika nga akiwa ekitundu ekyabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'Abayisirayeli baawangula bakabaka bonna mu kitundu eky'ebugwanjuba bwa Yorudaani, okuva e Baalugaadi mu Kiwonvu kya Lebanooni, okutuuka ku Lusozi Halaki, okwambuka e Seyiri. Yoswa n'awa Abayisirayeli ensi eno, ebe yaabwe, buli kika ng'akiwa ekitundu ekyakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne bano be bakabaka ab'ensi Yoswa n'abaana ba Isiraeri be baakuba emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki, olulinnya e Seyiri; Yoswa n'agiwa ebika bya Isiraeri okugirya nga bwe baayawulibwa;