Joshua 13:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa bwe yali akaddiye ng'ayise mu myaka, Omukama n'amugamba nti: “Okaddiye, era oyise mu myaka, sso ate ensi ekyali nnene nnyo etennawambibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yoswa bwe yali ng’akaddiye ng’amaze emyaka mingi. Mukama n’amugamba nti, “Okaddiye omaze emyaka mingi naye, wakyaliwo ensi nnyingi nnyo ez’okuwangula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa yali akaddiyidde ddala; Mukama n'amugamba nti, “Okaddiye nnyo, naye wakyasigaddeyo ensi nnyingi ezitanawangulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa yali akaddiye nnyo. Mukama n'amugamba nti: “Okaddiye nnyo, naye wakyaliwo ebitundu by'ensi bingi ebitannawangulwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa yali ng'akaddiye nga yaakamala emyaka mingi; Mukama n'amugamba nti Okaddiye, waakamala emyaka mingi, naye wasigaddewo ensi nnyingi nnyo okuliibwa.