Joshua 13:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kwe kugamba obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafugiranga mu Asutaroti ne Edureyi, eyali akyasigaddewo mu Barefa abasembayo. Musa yabakuba n'abawamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyali afuga mu Asutaloosi ne mu Ederei, ye yali asigaddewo yekka ku Balefa, bwawangulwa Musa n’atwala ensi yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obwo bwe bwali obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafugira mu Asutaloosi ne mu Ederei eyali omu ku Balefa abaasigalawo. Abo bonna Musa yabawangula, nabasanyaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyalimu obwakabaka bwonna obwa Ogi eyasembayo mu Bareefa, eyafugiranga mu Asitarooti, ne mu Edereyi eby'omu Besani. Abo Musa yabawangula n'abasaanyaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafuga mu Asutaloosi ne mu Ederei (oyo ye yasigalawo mu Balefa abaasigalawo); kubanga abo Musa yabakuba, n'abagoba.