Joshua 13:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ekika kya Leevi teyakiwa busika; wabula ebitambiro by'Omukama Katonda wa Yisirayeli ebiweerezebwa n'omuliro, bwe busika bwabwe, nga bwe yali abagambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekika kya Leevi kyokka Musa ky’ataawa mugabo, ebiweebwayo ebyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda wa Isirayiri, gwe mugabo gwe nga bwe yamugamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekika ekya Leevi kyokka Musa kyataawa butaka; bo baweebwa ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro eri Mukama Katonda wa Isiraeri, okuba omugabo gwabwe nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekika kya Leevi kye kyokka Musa ky'ataawa ttaka libe eryakyo. Omugabo ogwabwe baali ba kugufunanga ku bitambiro ebyokebwa ku alutaari ya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekika kya Leevi kyokka teyakiwa busika; ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, bwe busika bwe, nga bwe yamugamba.