Joshua 13:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
baava ku Aroweri ku lubalama lw'Ekiwonvu Arunoni, ku kibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu, n'omuseetwe gwonna okutuuka e Medeba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo yaabwe ng’eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu eky’Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna oluliraanye Medeba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensalo yaabwe eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna oluliraanye Medeba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu kyabwe kyava ku Aroweri ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu ekyo, ne kizingiramu n'omuseetwe ogw'e Medeba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensalo yaabwe yava ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna oluliraanye Medeba;