Joshua 13:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwongereza ku balala Abayisirayeli be baali basanjaze, mwe mwali ne Balaamu mutabani wa Bewori, omulaguzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne mu abo be batta n’ekitala, abaana ba Isirayiri battiramu n’omulaguzi Balamu omwana wa Byoli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu abo abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala mwe mwali ne Balamu omulaguzi mutabani wa Byoli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu abo Abayisirayeli be batta, mwe mwali n'omulaguzi Balamu, mutabani wa Bewori.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne Balamu, omwana wa Byoli, omulaguzi, abaana ba Isiraeri ne bamutta n'ekitala awamu n’abalala abattibwa.