Joshua 13:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi y'ab'ekika kya Rubeni ng'ekoma ku mugga Yorudani. Ekyo kye kitundu ab'ekika kya Rubeni kye baafuna mu masiga gaabwe, ebibuga n'ebyalo byabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’ensalo y’abaana ba Lewubeeni yali omugga Yoludaani. Ebibuga n’ebyalo byamu Musa yabiwa abaana ba Lewubeeni okuba omugabo gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugga Yoludaani ye yali ensalo ey'ekika kya Lewubeeni ebugwanjuba. Obwo bwe bwali obutaka bw'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugga Yorudaani ye yali ensalo y'Ekika kya Rewubeeni ebugwanjuba. Ebyo bye bibuga n'ebyalo ebibyetoolodde, ebyaweebwa ab'ennyumba z'Ekika kya Rewubeeni okuba ebyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensalo ey'abaana ba Lewubeeni Yoludaani n'ensalo yaagwo. Obwo bwe bwali obusika bw'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.