Joshua 13:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bafuna ekitundu ky'e Yazeri n'ebibuga byonna ebya Gileyaadi, n'ekyokubiri ky'ensi y'Abammoni, okutuukira ddala ku Aroweri ekiriraanye Rabba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettaka lyabwe lyali Yazeri, n’ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n’ekitundu ky’ensi y’abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri okumpi ne Labba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitundu kyabwe kyatwaliramu Yazeri, n'ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n'ekitundu eky'ensi ey'abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri ekyolekedde Labba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu kyabwe kyatwaliramu Yazeri n'ebibuga byonna ebya Gileyaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ensi y'Abammoni, okutuuka ku Aroweri, ebugwanjuba bwa Rabba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensalo yaabwe Yazeri, n'ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n'ekitundu eky'ensi ey'abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri ekyolekedde Labba;