Joshua 13:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kiwonvu baafuna Beti-Aramu, Beti-Nimura, ne Sukkoti ne Zafoni, ekitundu ekisigadde eky'obwakabaka bwa Sikoni, kabaka wa Kesuboni. Kino kye kitundu eky'ebuvanjuba wa Yorudani, ekigoba Yorudani okutuukira ddala ku nsonda eya wansi w'ennyanja ya Kinnereti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besu Nimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, n’ekitundu ekyasigalawo ekyobwakabaka bwa Sikoni kabaka ow’e Kesuboni, Yoludaani n’ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw’ennyanja ey’e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besunimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, ekitundu ekyasigalawo eky'obwakabaka bwa Sikoni kabaka ow'e Kesuboni, Yoludaani n'ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Kiwonvu kya Yorudaani, Abagaadi baatwala Beti Aramu, ne Betunimura, ne Sukkoti ne Safoni, n'ekitundu ekisigaddewo eky'obwakabaka bwa Sihoni ow'e Hesubooni. Ensalo yaabwe mu bugwanjuba gwe Mugga Yorudaani, okwambukira ddala okutuuka ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)